Psalms 91:1-4

Obwesige bw’oyo atya Katonda.

1 aOyo abeera mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo;
aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna.
2 bNnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange;
ggwe Katonda wange gwe nneesiga.

3 cDdala ddala y’anaakuwonyanga omutego gw’omuyizzi,
ne kawumpuli azikiriza.
4 dAlikubikka n’ebyoya bye,
era mu biwaawaatiro bye mw’onoddukiranga;
obwesigwa bwe bunaabanga ngabo yo okukukuumanga.
Copyright information for LugEEEE